Kooti ye nsi yona etula mu Hague egenda kuwa'akasimo omuntu yenna ayina amawulire kubayekela ba LRA okubasobozesa okwata ba komanda ba LRA Joseph Kony ne Vincent Otti.
Ekyiteso kyino kyaweledwa omuwabi wa gavumenti Moreno Ochamp ba sentebe ba disitulikiti zo mu kyitundu kye Acholi mu lusisinkano lwabwe mu kyibuga kye budutch mu Hague.
Sentebe wa disitulikiti ya Gulu Walter Ochora agambye nti oyoyena asobola okubawa amawulire agayinza okubatusa ku Kony oba omumyuka we Vincent Otti aja kusasulwa obwumbi munana.
Mu October wo mwaka guno Kooti ye nsi yona yafulumya ekyiwandiiko kyibakuntumye eli abakulembeze ba LRA abataano olwemisango jebaza ku antu babulijjo awamu nemisango jebaza mu lutalo mu Uganda okuva July 2002.
