Akuulila e'somelo lya URDT Girls' School Ponsiano Sentongo Kabaaga yakubidwa amaasasi abasajja ababade ne'mundu nafilawo. Sentongo yatiidwa mu maka ge e Kicwanyindo ekyisangibwa mu Kagadi Town Council.
Abelabideko nagabwe bagambye nti ekyibinja kya basajja kyino kyakyalide Sentongo mu makage nga'kusawa 8.30 ezakawungezi kegulo, nebasaba amaazi gokunywa oluvanyuuma nebasaba okwogelako ne Sentongo. Sentongo bweyazze kulugyi okubasisinkaana, abasajja bamukuubye amaasi 7 mu kyifuuba na magulu ela nafilidewo.
Akuulila polisi e Kibaale Denis Okuja agambye nti tebanakwata muntu nomu ku kyikolwa kyino.
Mu July 2004, Juliet Nalubega eyali omukoozi ku URDT, naye yakubibwa amaasasi mu lukuubo olutuunulidde polisi ye Kagadi. Wabula ye Okuja agamba nti bukyaali okumanya oba obutemu bwombi bulina akakwaate kwona.
