Register now
Register or log in to optimize your usage. Clients need to log in to access audio and texts of articles the moment they are released.

FDC nelalikiliivu olwe nsiimbi ezigenda okutekebwa mu lukiiko lwa Commonwealth

News
Ekyibina kya FDC kyilaze obwelalikilivu nti olukiiko lwe nsi ezaali amatwale ga Bungeleza olugenda okutuula mu Kampala mu 2007 lugenda kuleka Uganda namabanja mangi.
Akulila ebyokulonda mu FDC Rubaramira Ruranga agambye nti Uganda egenda koola amabanja mangi kubanga yegenda okuwooma omutwe mu olukiiko luno.
Minisita we byamawulire Nsaba Buturo yagamba wiiki ewedde nti gavumenti egenda kozesa obukadde 90 okutekateka olukiiko luno.
Ruranga agamba nti sente ezigenda okutekeebwa ku lukiiko luno ziwawaza amaatu kubanga Uganda nge'nsi tesobola nakuwa banansi bintu byebetaaga nge'dagala mu malwalilo. Agamba nti Uganda njaavu okutuuza olukiiko nga luno mu mbeela gyelimu.
Ye omwugezi wa FDC Wafula Oguttu asabye gavumenti okuwa ebibina ebivuganya gavumenti omukisa okusisinkaana abakungu ba mawanga agengawulo ngabaze. Wafula yalabudde nti betegefu okwekalakasa singa gavumenti enebalemesa.

common wealth fdc

Type Report
Freelance author No
Location Kampala, Uganda
Accepted on 2006-04-24 18:03:53

Comments